Habakkuk 2:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kuyimirira we nkuumira, nzija kwesimba waggulu ku kigo, neetegereze ndabe ky'aŋŋamba ne ky'anaddamu okwemulugunya kwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera ntunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu nnindirire ky’aliŋŋamba, era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kw’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nditwala oluwalo lwange, ne nnyimirira we nkuumira ne nneeteka ku munaala, ne nnengera okulaba by'anaayogera nange, era ne bye n'addamu ebikwata ku by'okwemulugunya kwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kulinnya waggulu ku munaala we nkuumira, nninde okumanya Mukama by'anampa okwogera, ne by'ananziramu ku kwemulugunya kwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndiyimirira we nkuumira ne nneeteeka ku kigo, ne nnengera okulaba by'anaayogera nange, era bye mba nziramu eby'okwemulugunya kwange.