Habakkuk 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wateesa ebiswaza ennyumba yo, bwe watta abantu abangi, n'ossa obulamu bwo mu kabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi, n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oleteedde ennyumba yo ensonyi, ng'omalawo amawanga mangi, era wasobya emmeeme yo ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula bye mwateesa biswaza maka gammwe. Mu kusaanyaawo abantu ab'amawanga amangi, mweretedde okuzikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oteeserezza ennyumba yo ensonyi, ng'omalawo amawanga mangi, era wasobya emmeeme yo ggwe.