Habakkuk 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zimusanze azimbira ekibuga ku kuyiwa omusaayi, n'akuba ekibuga ng'ayita mu kukola obubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi, atandika ekibuga n’obutali butuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zimusanze oyo azimba ekibuga n'omusaayi, era atandika ekibuga ku butali butuukirivu!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze mmwe abazimbira ekibuga ku kutemula abantu, ne mukinywezaawo nga muzza misango!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zimusanze oyo azimba ekibuga n'omusaayi, n'anyweza ekibuga n'obutali butuukirivu!