Habakkuk 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, ekyo tekivudde wa Mukama w'Amagye, nti abantu kye beekooyeza si kirala wabula muliro, nti n'amawanga gateganira bwereere?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye nti okutegana kw’abantu nku buku za muliro, n’amawanga geemalamu ensa olw’ebintu ebitaliimu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, tekyava eri Mukama w'eggye abantu okutengejjera omuliro, n'amawanga okwekooyeeseza obwereere?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, Nnannyinimagye ye yakkiriza ab'amawanga ge muwangudde bateganire bwereere, ebizimbe byabwe nabyo babizimbire muliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, tekyava eri Mukama w'eggye abantu okutengejjera omuliro, n'amawanga okweyooyeseza obutaliimu?