Habakkuk 2:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zimusanze oyo awa mikwano gye ekyokunywa, n'abafukiramu obusungu bwe okutuusa nga batamidde, alyoke atunuulire obwereere bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza n’akibafukira okuva mu kita n’abawa banywe okutuusa lwe batamiira asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zimusanze oyo awa baliraanwa be eby'okunywa ku kikompe eky'obukambwe, n'abatamiiza alyoke atunuulire ensonyi zaabwe!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze mmwe, kubanga mwasunguwala ne muswaza bannammwe, nga mubaleetera okutagatta ng'abatamiivu b'omwenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zimusanze oyo awa munne ebyokunywa, n'oyongerako n'obutwa bwo, n'okutamiiza n'omutamiiza olyoke otunuulire ensonyi zaabwe!