Habakkuk 2:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulijjula nsonyi sso si kitiibwa. Kati naawe nywa otagale! Ekikompe mu ddyo w'Omukama kijja kukutuukako, olwo ensonyi ziribikka ekitiibwa kyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa. Naawe olinywa n’oswala. Ekikompe eky’omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gy’oli, n’ensonyi ez’obuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ojjudde ensonyi mu kifo ky'ekitiibwa, nywa era otagatte! ekikompe ekiri mu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa gyoli, n'ensonyi zirisaanikira ekitiibwa kyo!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nammwe muliswazibwa mu kifo ky'okuweebwa ekitiibwa. Mulinywa omwenge ne mutagatta: Mukama alibanywesa ekikopo eky'obusungu bwe ababonereze, mu kifo ky'ekitiibwa, muswale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ojjudde ensonyi awaabanga ekitiibwa: naawe nywa, obeere ng'atali mukomole: ekikompe eky'omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa eri ggwe, n'ensonyi ez'obuwemu ziriba ku kitiibwa kyo.