Habakkuk 2:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga obukambwe bw'olaze Lebanoni bulikubuutikira, n'okuzikirira kw'ebisolo kulikutiisa. Kubanga oyiye omusaayi gw'abantu, okoze n'obulabe ku nsi n'ebibuga na bonna ababisulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni, n’okutta ensolo, birikutiisa. Osse abantu n’ozikkiriza ensi n’ebibuga n’abantu ababibeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obukambwe obw'akolebwa ku Lebanooni bulikusuukirirako, n'okuzikirira kw'ensolo ku likutiisa, olw'omusaayi gw'abantu n'obukambwe eby'akolebwa ku nsi n'ebibuga ne bonna ababituulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eby'obukambwe bye mwakola mu Lebanooni, ka bibaddire mmwe kati. Nga bwe mwazikiriza ebisolo, mulitiisibwa ebisolo. Mulituukibwako ebyo olw'okutemula abantu n'okukambuwalira ensi awamu era n'ebibuga, n'ababibeeramu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekyejo ekyagirirwa Lebanooni kirikubikkako, n'okuzikirira kw'ensolo ezaabatiisanga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyejo ekyagirirwa ensi n'ekibuga ne bonna abakituulamu.