Habakkuk 2:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekifaananyi ekyole kigasa ki ng'omukozi waakyo akikoze, oba ekifaananyi ekisaanuuse eri omuyigisa w'obulimba? Lwaki akikola asuubirira mu ky'akoze, lwaki akola ebifaananyi bya balubaale ebitayinza kwogera?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi. Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba? Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye nga akola ebifaananyi ebitayogera!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Omukozi waakyo n'okwola n'akyola, ekifaananyi ekisaanuuse, n'omuyigiriza w'eby'obulimba bigasa ki? Kubanga omukozi w'omulimu yeesiga ekyo ky'akoze, bw'akola ebifaananyi ebitayogera!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekifaananyi kigasa ki? Kintu buntu ekikolebwa omuntu. Tekiyigiriza mazima wabula obulimba. Eyakikola afunamu ki okwesiga ekitayogera?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekifaananyi ekyole kigasa ki, omukozi waakyo n'okwola n'akyola; ekifaananyi ekisaanuuse n'omuyigiriza w'eby'obulimba bigasa ki, omukozi w'omulimu gwe n'okwesiga n'akyesiga, okukola essanamu ensiru!