Habakkuk 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zimusanze oyo agamba ekiti nti: “Zuukuka!” n'ejjinja likasiru nti: “Vva mu tulo.” Lisobola okuyigiriza? Liiryo likwatiridde zaabu ne ffeeza, naye mu lyo temuli mukka gwa bulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’ agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’ Kino kisobola okuluŋŋamya? Kibikiddwa zaabu ne ffeeza, so tekiriimu bulamu n’akatono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zimusanze oyo agamba ekintu eky'omuti nti, “Zuukuka!” Era agamba ejjinja eritayogera nti, “Golokoka!” Kino kiyinza okuvaako okubikkulirwa? Laba, kibikkiddwako zaabu ne ffeeza, naye tekirimu mukka gwa bulamu mu kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze mmwe abagamba ekitittiriri nti: “Zuukuka!” Oba ejjinja nti: “Golokoka!” Kino kinaababuulira ki? Lwa kubikkibwako ffeeza ne zaabu, naye tekirina bulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zimusanze oyo agamba omuti nti Zuukuka; agamba ejjinja essiru nti Golokoka! Kino kinaayigiriza? Laba, kibikkiddwako zaabu ne ffeeza, so tewali mukka n'akamu kokka wakati mu kyo.