Habakkuk 2:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'annyanukula: “Wandiika ky'olabye mu kulabikirwa, kirage bulungi ku kayinja, anaaba akisomye adduke nakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti, “Wandiika okwolesebwa okwo ku bipande. Kuwandiike bulungi ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'anziramu n'ayogera nti, “Wandiika okwolesebwa okwo okwole bulungi ku bipande,” alyoke adduke mbiro oyo abisoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'anziramu nti: “Bye nkulaga biwandiike obyole bulungi ku bipande, bibe byangu okusoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'anziramu n'ayogera nti Wandiika okwolesebwa okwo, okwole bulungi ku bipande, akusoma adduke mbiro.