Habakkuk 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ky'olabye mu kulabikirwa kirinda kadde kaakyo; kyanguwa okutuuka ku nkomerero era tekiibe kya bulimba. Ne bwe kirinzalinza, ggwe kirinde; kwo okujja kijja kujja, tekiirwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere. Kwogera ku by’enkomerero ate si kwa bulimba. Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire, kujja kutuukirira, tekugya kulwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, tekulirimba, bwe kuba nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bikuume mu buwandiike, kubanga bikyalinda ekiseera kyabyo kituuke. Naye ekiseera tekirirwa, bye nkulaga bituukirire. Ne bwe kirabika nti kirwawo kirindirire, tekirirema kujja, era kiryanguwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, so tekulirimba: newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.