Habakkuk 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima, omwenge gwa nkwe; omwekuza atiiratiira buli kaseera. Oyo mu mululu mugazi ng'amagombe; tamatira ng'olumbe, yeekuŋŋaanyiza amawanga gonna, yeewundulira abantu bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo, omwenge mulimba guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako. Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa. Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta, amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako ne gugafuula abasibe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Weewaawo, era omwenge mulyazaamaanyi, omusajja owa malala tayinza kuyimirira. Omululu gwe mugazi nga amagombe, ng'okufa, takkutanga, yekuŋŋaanyiza gy'ali amawanga gonna, era ateeka wamu abantu bonna nga ababe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'omwenge bwe gulimbalimba abagunywa, n'abeekulumbaza bwe batyo bwe baba: tebamatira era tebatereera. Omululu gwe balina mugazi nga magombe! Bali nga Walumbe: nabo tebakkuta. Kyebava bawangula buli ggwanga, bafugenga abantu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, era omwenge mulyazaamaanyi, musajja wa malala, era atatuula waka; agaziya okwegomba kwe ng'amagombe, era ali ng'okufa, so tayinza kukkuta, naye n'akuŋŋaanyiza gy'ali amawanga gonna, ne yeetuumira ebika byonna.