Habakkuk 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna bano tebaasituke, ne bamukiina nga bayisa engero nti: “Zimusanze atuuma ebitali bibye, ne yeegaggawaza ng'atwala emisingo!” Kino anaakikola kutuusa wa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti, “ ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye! Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bonna tebalimugererako lugero ne bamukokkolerako ekikokko ne boogera nti, “Zimusanze oyo eyeetuumako ebyo ebitali bibye! Alituusa wa? Era eyeebinika emisingo!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna abawanguddwa bakudaalira abawangudde nga babayeeyereza nti: “Tezibasanze mmwe abeetuumako eby'abandi? Kale mulituusa wa okugenda nga mwebinika emisango gy'abalemwa okusasula amabanja?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonna tebalimugererako lugero ne bamukokkolerako ekikokko ne boogera nti Zimusanze oyo ayaza ebyo ebitali bibye! alituusa wa? era eyeebinika emisingo!