Habakkuk 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga wanyagulula amawanga nkumu, n'abantu bonna abasigaddewo balikunyagulula; kubanga wayiwa omusaayi gw'abantu, n'okola obulabe ku nsi n'ebibuga na bonna ababisulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga onyaze amawanga mangi, abantu abasigaddewo balikunyaga; Oyiye omusaayi gw’abantu, n’oyonoona ensi n’ebibuga n’abantu bonna ababibeeramu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga wanyaga amawanga mangi, ekitundu kyonna ekifisseewo ku mawanga ago naawe balikunyaga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'obukambwe bwe wakola ku nsi, n'ekibuga ne bonna abakibeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe mwanyaga abantu ab'amawanga amangi, abo abasigaddewo balibanyaga nammwe olw'okutemula abantu n'okukambuwalira ensi awamu era n'ebibuga, n'ababibeeramu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga wanyaga amawanga mangi, ekitundu kyonna ekifisseewo ku mawanga balikunyaga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyejo ekyagirirwa ensi n'ekibuga ne bonna abakibeeramu.