Habakkuk 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zimusanze atuumira ennyumba ye obugagga obulyakule, awanike waggulu ekisu kye, yeewonye okutuukibwako akabenje.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi, azimba ekisu kye waggulu, okwekuuma obutatuukwako kabi!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zimusanze oyo afuna ennyumba ye ku magoba amabi, azimba ekisu kye waggulu, awonyezebwe mu mukono gw'obubi!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze mmwe abagaggawaza amaka gammwe nga munyaga eby'abalala, ne mwezimbira amayumba mu bifo ebinywezeddwa, nga tetuukibwayo babi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zimusanze oyo afunira ennyumba ye amagoba amabi, azimbe ekisu kye waggulu, awonyezebwe mu mukono gw'obubi!