Habakkuk 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ensozi zaakulaba ne zenyoola olw'obulumi; amazzi ag'omujjuzi ne gayitawo, eddubi ne liyira, ne lisitula amayengo gaalyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola; Amataba ne gayitawo mbiro, obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma, ne busitula amayengo gaayo waggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensozi zaakulaba ne zitya; Amataba ag'amazzi ne gayitawo, Ennyanja yaleeta eddoboozi lyayo, N'esitula amayengo gaayo waggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensozi zaakulaba ne zitya! Mukoka ow'amaanyi yakulugguka n'ayitawo. Ennyanja yayira, n'esitula amayengo gaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensozi zaakulaba ne zitya; Amataba ag'amazzi ne gayitawo: Ennyanja yaleeta eddoboozi lyayo, N'eyimusa emikono gyayo waggulu.