Habakkuk 3:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjuba n'omwezi byasigala mu bisulo byabyo, byadduka nga birabye okutemagana kw'obusaale bwo, n'okutangalijja kw'effumu lyo erimyamyansa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo, olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka, n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enjuba n'omwezi ne biyimirira mu kifo kyabyo mwe bibeera; Olw'ekitangaala ky'obusaale bwo ne bidduka, Olw'okwakaayakana kw'effumu lyo erimasamasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enjuba n'omwezi tebyavaayo olw'okutangaala kw'obusaale bwo obuyita, n'okwakaayakana kw'effumu lyo erimasamasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enjuba n'omwezi ne biyimirira mu kifo kyabyo mwe bibeera; Olw'okutangaala kw'obusaale bwo nga butambula, Olw'okwakaayakana kw'effumu lyo erimasamasa.