Habakkuk 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wavaayo okuwonya abantu bo, okulokola omusiige wo. Wakuba omutwe gw'ennyumba y'omubi, n'omwambula okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi, olokole gwe wafukako amafuta; Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi, ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wafuluma okuleetera abantu bo obulokozi, Okuleetera obulokozi oyo gwe wafukako amafuta; Wabetenta omutwe gw'omubi, N'asigala bwereere okuva ku bisambi okutuuka ku nsingo (Seera).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weesowolayo okulokola abantu bo, okulokola oyo omusiige wo. Wabetenta omukulembeze w'ababi, n'ozikiriza b'atwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wafuluma okuleetera abantu bo obulokozi, Okuleetera obulokozi oyo gwe wafukako amafuta; Wafumita omutwe ogw'omu nnyumba y'omubi, Ng'oyerula omusingi okutuuka ne ku nsingo. (Seera)