Habakkuk 3:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wafumita n'effumu lyo omukulu w'abatabaazi be, abajja nga kibuyaga okutubunya emiwabo, nga basanyuka ng'abakavvulira omunaku gye yeewogomedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye, abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba, nga bali ng’abanaatumalawo, ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wafumita n'amafumu omutwe gw'abalwanyi be; Bajja ng'embuyaga ez'akazimu okunsaasaanya, Okusanyuka nga agenda okulya omwavu mu kyama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wakozesa obusaale bwo n'ofumita omuduumizi w'eggye lye, eryajja ng'embuyaga y'akazimu okutusaanyaawo nga lisanyuka, ng'erigenda okutigomya abaavu, abatalina bwogerero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wafumita n'emiguma gye ye omutwe gw'abalwanyi be: Bajja ng'embuyaga ez'akazimu okunsaasaanya: Okusanyuka kwabwe kulya mwavu kyama: