Habakkuk 3:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nawulira, omutima gwange ne gunkuba, emimwa ne ginkankana ku lw'eddoboozi; amagumba gange ne gavunda, n'entegetege ne zinfamba. Naye nzija kulinda n'obugumiikiriza olunaku olw'obuyinike olulijjira eggwanga eryo eritulumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nawulira, n’omutima gwange ne gukankana n’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo; Obuvundu ne buyingira mu magumba gange, amagulu gange ne gakankana. Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennaku bwe lulijjira eggwanga eritulumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpulira, era omubiri gwange gukankana, Emimwa gyange ne gijugumira olw'eddoboozi; Okuvunda ne kuyingira mu magumba gange, ne nkankanira mu kifo kyange, Nja kulinda mu kasirise olunaku olw'okulabiramu ennaku, Bwe zirijja eri abantu abatutabaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nawulira ebyo byonna ne nkankana, emimwa ne ginjugumira olw'okutya, amagumba gange ne galemala. Ne nkankanira we nnyimiridde! Ndisirika ne nnindirira olunaku Katonda lw'alibonereza abatulumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nawulira, olubuto lwange ne lukankana, Emimwa gyange ne gijugumirira eddoboozi eryo; Okuvunda ne kuyingira mu magumba gange, ne nkankanira mu kifo kyange: Mpummulire ku lunaku olw'okulabiramu ennaku, Bwe zirisanga abantu abamutabaala ebibiina.