Habakkuk 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde ng'omukunyu tegutojjedde, ne ku mizabbibu nga tekuli bibala, n'oliva nazo nga tezibaze, n'ennimiro nga teziwadde mmere, ne mu kisibo ne bwe mutaliba ndiga, ne mu magana nga temuli nte,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wadde omutiini tegutojjera, so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala, amakungula g’emizeeyituuni ne gabula, ennimiro ne zitabala mmere n’akamu, endiga nga ziweddemu mu kisibo, nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omutiini newakubadde nga tegwanya, So n'emizabbibu nga tegiriiko bibala; Emizeyituuni ne bwe gifa, era nga bateganira bwereere, Ennimiro ne bwezitaleeta mmere yonna; Embuzi nga zimaliddwawo mu kisibo, So nga tewali na nte mu biraalo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emitiini ne bwe gitamulisa, n'emizabbibu ne gitabala, emizayiti ne bwe gifa, emmere mu nnimiro n'etekula, embuzi ne bwe ziggwa mu kisibo, n'ente ne zitaba mu biraalo
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omutiini newakubadde nga tegwanya, So n'emizabbibu nga tegiriiko bibala; Ne bwe bateganira omuzeyituuni obwereere, Ennimiro ne zitaleeta mmere yonna; Embuzi nga zimaliddwawo ku kisibo, So nga tewali nte mu biraalo: