Habakkuk 3:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda ge maanyi gange, ebigere byange abifuula ng'eby'ennangaazi, ansobozesa okwambuka mu nsozi. Eri omuyimbisa: lwa ku bivuga eby'enkoba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda, ge maanyi gange; afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo, era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu. Ya Mukulu wa Bayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakuwa, Mukama, ge maanyi gange, Naye afuula ebigere byange okuba ng'eby'empeewo, Era alintambuliza ku bifo ebigulumivu. Ya mukulu w'Abayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, Katonda ye ampa amaanyi. Bwe ntambula ku nsozi, ye anyweza ebigere byange ng'eby'empeewo. Ebyo bya mukulu w'abayimbi, ebigendera ku bivuga byange eby'enkoba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakuwa, Mukama, ge maanyi gange, Naye afuula ebigere byange okuba ng'eby'empeewo, Era alintambuliza ku bifo byange ebigulumivu. Ya Mukulu w'Abayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.