Habakkuk 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, nawulira ku ttutumu lyo, Mpuniikirira, ayi Mukama, olw'ebyo by'okola; biddemu ne mu nnaku zaffe; bimanyise ne mu budde bwaffe; ng'osunguwadde, jjukira okusaasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo; mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya. Bizze buggya mu nnaku zaffe, bimanyise mu biro bino, era mu busungu jjukira okusaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo n'entya; Ayi Mukama, zuukiza omulimu gwo wakati mu myaka, Gumanyise wakati mu myaka; Awali obusungu, jjukira okusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, mpulidde ky'okoze ne ntya. Kaakati ddamu okukola ebyo bye wakolanga edda. Saasira ne bw'osunguwala!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, mpulidde ebigambo byo, n'entya: Ai Mukama, zuukiza omulimu gwo wakati mu myaka, Gumanyise wakati mu myaka; Awali obusungu, jjukira okusaasira.