Habakkuk 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutangalijja kwe kwali ng'okw'emisana, ebimyanso nga bimyansa mu mikono gye, omwo nga mwe mukwekeddwa obuyinza bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo. Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe, era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okumasamasa kwe kwali ng'ekitangaala; Okumyansa kwava mu mukono gwe, Era omwo mwe yakweka amaanyi ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitiibwa kye kiri ng'enjuba evaayo. Omukono gwe omukwekeddwa obuyinza bwe, gumyamyansa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okumasamasa kwe kwali ng'omusana; Yalina amayembe nga gava mu mukono gwe: Era omwo mwe mwali okukweka amaanyi ge.