Habakkuk 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yayimirira, n'ayuuguumya ensi; yatunula, n'akankanya amawanga. Ensozi ez'edda ne zimulunguka, obusozi obwa ddi na ddi ne bubutama. Amakubo ge ga mirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi; Yatunula n’akankanya amawanga. Ensozi ez’edda za merenguka, obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yayimirira n'agera ensi; Yatunula n'ayugumya amawanga Ensozi ez'olubeerera ne zisaasaana, Obusozi obutaggwaawo ne bukutama; Okutambula kwe kwali nga bwe kwabanga edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'asibamu, n'akankanya ensi. Bw'atunula, amawanga gayuuguuma, ensozi ez'olubeerera ne ziggweerera, obusozi obutaggwaawo ne bubulira wansi. Ekkubo lye ne liba nga bwe lyali edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yayimirira n'agera ensi; Yatunula n'agoba amawanga n'agasalamu: Ensozi ez'olubeerera ne zisaasaana, Obusozi obutaggwaawo ne bukutama; Okutambula kwe kwali nga bwe kwabanga obw'edda.