Habakkuk 3:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, wali osunguwalidde migga? Wali onyiigidde ngezi? Wali okambuwalidde nnyanja, lwe weebagala ku mbalaasi zo, ku bigaali byo eby'obuwanguzi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, wanyiigira emigga? Obusungu bwo bwali ku bugga obutono? Wanyiigira ennyanja bwe weebagala embalaasi zo, n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yanyiigira emigga? Obusungu bwo bwali ku migga, Oba ekiruyi kyo kyali ku nnyanja, N'okwebagala ne weebagala embalaasi zo, N'olinnya ku magaali go ag'obulokozi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, okwebagala ku mbalaasi zo, ku magaali go ggwe omuwanguzi wasunguwalira migga? Oba wanyiigira nnyanja?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yanyiigira emigga? Obusungu bwo bwali ku migga, Oba ekiruyi kyo ku nnyanja, N'okwebagala ne weebagala embalaasi zo, N'olinnya ku magaali go ag'obulokozi?