Haggai 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Zerubabbeli mutabani wa Seyalutyeli ne Yoswa mutabani wa Yozadaki kabona omukulu n'abaasigalawo bonna mu bantu ne bawulira eddoboozi ly'Omukama Katonda waabwe n'ebigambo bya Aggayi Omulanzi ng'Omukama Katonda waabwe bwe yali amubatumidde; abantu ne batya Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, ye yali kabona asinga obukulu, n’abantu bonna abaasigalawo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, n’obubaka bwa nnabbi Kaggayi, kubanga Mukama Katonda waabwe ye yamutuma. Abantu ne batya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu wamu n'abantu bonna abafisseewo, ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe n'ebigambo bya Kaggayi nnabbi nga Mukama Katonda waabwe bwe yamutuma; abantu ne batya mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, ne Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki, n'abantu bonna abaakomawo, ne bakola nga Mukama Katonda waabwe bwe yabalagira. Baatya ne bagondera obubaka bwa Haggayi omulanzi, Mukama gwe yatuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu wamu n'abantu bonna abafisseewo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe n'ebigambo bya Kaggayi nnabbi nga Mukama Katonda waabwe bwe yamutuma; abantu ne batya mu maaso ga Mukama.