Haggai 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aggayi omubaka w'Omukama n'agamba abantu obubaka bw'Omukama nti: “Ndi nammwe, Omukama y'agamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n’ategeeza abantu obubaka obwava eri Mukama nti, “Ndi wamu nammwe,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n'agamba abantu ng'asinziira mu bubaka bwa Mukama nti, “ Nze ndi wamu nammwe,” bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Haggayi n'atuusa ku bantu obubaka bwa Mukama nti: “Mukama agamba nti: ‘Ndi wamu nammwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n'agamba abantu ng'ayima mu bubaka bwa Mukama nti Nze ndi wamu nammwe, bw'ayogera Mukama.