Haggai 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'asiikuula omwoyo gwa Zerubabbeli mutabani wa Seyalutyeli owessaza mu Yuda n'omwoyo gwa Yoswa mutabani wa Yozadaki kabona omukulu n'omwoyo gw'abaasigalawo bonna mu bantu, ne bajja ne batandika okukola ku Kiggwa ky'Omukama w'Amagye, Katonda waabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda, n'omwoyo gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n'omwoyo gw'abantu bonna abaali bafisseewo, ne bajja ne bakola omulimu mu nnyumba ya Mukama w'eggye Katonda waabwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama Nnannyinimagye n'ateeka mu Zerubabbeeli omufuzi wa Buyudaaya, era mutabani wa Seyalutiyeli, mu Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki, ne mu bantu bonna abaakomawo, omwoyo ogw'okukola ku Ssinzizo. Ne bajja ne bakola ku Ssinzizo lya Mukama Nnannyinimagye, Katonda waabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda n'omwoyo gwa Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu n'omwoyo gw'abantu bonna abaali bafisseewo, ne bajja ne bakola omulimu mu nnyumba ya Mukama w'eggye Katonda waabwe,