Haggai 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Abantu bano bagamba nti: ‘Obudde tebunnatuuka kuzimba Kiggwa kya Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, “Abantu bano boogera nti, ‘Ekiseera tekinnatuuka okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Abantu bano boogera nti ekiseera tekinnatuuka okuzimba ennyumba ya Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Abantu bano bagamba nti ekiseera tekinnatuuka okuzimba obuggya Essinzizo lya Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abantu bano boogera nti Kaakano si kye kiseera ffe okujja, ekiseera eky'okuzimbiramu ennyumba ya Mukama.