Haggai 1:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwasiga bingi naye mukungudde katono; mulya naye temukkuta; munywa naye temumatira; mwambala engoye naye temubuguma; musasulibwa empeera naye mugissa mu nsawo za bituli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musimbye bingi naye ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye ennyonta tebaggwaako; mwambala naye temubuguma; mukolera empeera naye ze mukoze muziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwasiga bingi, ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye temukkuta bye munywa; mwambala naye tewali abuguma; n'oyo afuna empeera agifuna okugiteeka mu nsawo eyawummukawummuka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwasiga bingi, naye mwakungula bitono. Mulya, naye temukkuta. Munywa, naye byemunywa tebibamala nnyonta. Mwambala, naye temubuguma. Empeera omukozi gy'afuna, emuyita mu myagaanya gya ngalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwasiga bingi, ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye temukkuta bye munywa; mwambala naye tewali abuguma; n'oyo afuna empeera afuna okugiteeka mu nsawo eyawummukawummuka.