Haggai 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwalindirira bingi, naye ekizze kitono; kye mwaleeta eka nakifuuwa eri. Lwaki? Omukama w'Amagye y'agamba. Kubanga Ekiggwa kyange kikyali matongo, sso nga mmwe buli omu yeefunyiridde ku nnyumba ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwasuubira bingi, naye mulaba bwe muvuddemu ebitono. Bye mwaleeta eka, nabifuumuula. Mumanyi ensonga? bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kubanga buli muntu afa ku nnyumba ye naye ennyumba yange mugigayaaliridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mwasuubira bingi, kale laba ne biba bitono; era bwe mwabireeta eka, ne mbifuumuula. Lwaki?” Bw'ayogera Mukama w'eggye. “Ogw'ennyumba yange ebeererawo mu matongo, nammwe muddukira buli muntu mu nnyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mwasuubira kukungula bingi, naye ne biba bitono. Bwe mwabireeta eka, ne mbyonoona. Nakola bwe ntyo, kubanga Essinzizo lyange lirekeddwa awo lityo, nga buli omu ku mmwe yeemalidde ku nnyumba ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwasuubira bingi, kale, laba, ne biba bitono; era bwe mwabireeta eka, ne mbifuumuula. Lwaki? bw'ayogera Mukama w'eggye. Ogw'ennyumba yange ebeerera awo ng'erekeddwawo, nammwe muddukira buli muntu eri ennyumba ye.