Haggai 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Singa omuntu atwala ennyama emponge mu kikondoolo ky'ekyambalo kye, ne kimala kikoona ku mugaati oba ku nva, oba ku vviini oba ku muzigo oba ku mmere endala yonna, kye kikoonyeeko kifuuka kiwonge?’ ” Bakabona ne baddamu nti: “Nedda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu bw’asitulira ennyama eyatukuzibwa mu kirenge eky’ekyambalo kye, ekirenge ne kikoma ku mugaati oba ku supu, oba ku wayini, oba ku mafuta oba ku mmere endala yonna, bitukuzibwa?’ ” Bakabona ne baddamu nti, “Nedda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bw'asitulira ennyama entukuvu mu kirenge eky'ekyambalo kye, n'akoma ku mmere n'ekirenge kye oba mugoyo, oba mwenge, oba mafuta, oba mmere yonna, kyakomyeko kifuuka kitukuvu?” Bakabona ne baddamu ne boogera nti, “ Nedda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'asala ekifi ky'ennyama ku kitambiro ekitukuvu, ekifi ekyo n'akitwalira mu lugoye lw'ayambadde, ekirenge ky'olugoye olwo ne kikoona ku mugaati, oba ku mugoyo, oba ku muzigo, oba ku kyokulya ekirala kyonna, ekyokulya ekyo kifuuka kitukuvu?” Bakabona ne baddamu nti: “Nedda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'asitulira ennyama entukuvu mu kirenge eky'ekyambalo kye, n'akoma ku mmere n'ekirenge kye oba mugoyo oba mwenge oba mafuta oba mmere yonna, kiriba kitukuvu? Bakabona ne baddamu ne boogera nti Nedda.