Haggai 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aggayi n'ayanukula n'agamba nti: “Bwe kityo nno n'abantu bano, eggwanga lino, bwe bali mu maaso gange, Omukama y'agamba. Buli kyonna kye bakola n'emikono gyabwe na byonna bye baweerereza wano si birongoofu!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaggayi n’addamu nti, “Kale nno bwe batyo bwe bali abantu bano n’eggwanga lino. Buli kye bakola ne buli kye bawaayo ng’ekiweebwayo, si kirongoofu,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kaggayi n'alyoka addamu n'ayogera nti, “Abantu bano bwe bali bwe batyo, era eggwanga lino bwe liri bwe lityo mu maaso gange, bw'ayogera Mukama; era na buli mulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli bwe gutyo; n'ekyo kye baweerayo eyo si kirongoofu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Haggayi n'agamba nti: “Mukama agamba nti: Bwe kityo bwe kiri ne ku bantu b'eggwanga lino, ne ku byonna bye bakola. Buli kye baleeta wano mu maaso gange, si kirongoofu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kaggayi n'alyoka addamu n'ayogera nti Abantu bano bwe bali bwe batyo, era eggwanga lino bwe liri bwe lityo mu maaso gange, bw'ayogera Mukama; era na buli mulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli bwe gutyo; n'ekyo kye baweerayo eyo si kirongoofu.