Haggai 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okuva n'olwa leero n'okweyongerayo kino mukyekkaanye: Ejjinja bwe lyali terinnassibwa ku linnaalyo ku Kiggwa ky'Omukama,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kale nno, mweddeko okuva ku lunaku lwa leero, mujjukire ebiseera biri bwe byali, nga n’ejjinja erimu terinnateekebwa ku linnaalyo mu yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale nno, mbeegayiridde, mulowooze okuva leero n'okudda emabega, ejjinja nga terinaba kuteekebwa ku jjinja mu Yeekaalu ya Mukama,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Temuyinza kulaba bibatuuseeko mmwe? Bwe mwali temunnatandika kuzimba buggya Ssinzizo lyange,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno, mbeegayiridde, mulowooze okuva leero n’okudda ennyuma, ejjinja nga terinnaba kuteekebwa ku jjinja mu yeekaalu ya Mukama: