Haggai 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensigo ekyalimu mu kyagi? N'okutuusa kati omuzabbibu, omukunyu, ekkomamawanga n'oliva tebinnaleeta kibala? Okuva n'olwa leero n'okweyongerayo nzija kubawanga omukisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wakyaliwo ensigo eyasigala mu tterekero? Mulabe, emiti gino egimenyeddwa, ogw’omuzabbibu n’ogw’omutiini, n’ogw’omukomamawanga, n’ogw’omuzeeyituuni tegibalangako bibala. “ ‘Naye okuva ne leero ndibawa omukisa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensigo zikyali mu ggwanika? Weewaawo, omuzabbibu n'omutiini n'omukomamawanga n'omuzeyituuni teginnabala; okuva ku lunaku lwa leero, ndibawa omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde nga mu ggwanika temukyali ŋŋaano ya kusiga, wadde ng'emizabbibu n'emitiini, n'emikomamawanga, n'emizayiti teginnabala, naye okuva ku lunaku lwaleero, nja kubawa omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensigo zikyali mu ggwanika? weewaawo, omuzabbibu n'omutiini n'omukomamawanga n'omuzeyituuni teginnabala; okuva ku lunaku lwa leero ndibawa omukisa.