Haggai 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Mu mmwe ani akyasigaddewo eyalaba ku Kiggwa kino mu kitiibwa kyakyo ekyasooka? Ate kati mukiraba mutya? Tekibafaananira ng'omutali kantu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Ani mu mmwe akyasigaddewo eyalaba ku kitiibwa ky’ennyumba eno? Ebafaananira etya kaakano? Tebafaananira ng’eteriimu kaabuntu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘Ani asigadde mu mmwe eyalaba ennyumba eno mu kitiibwa kyayo ekyasooka? Era mugiraba mutya kaakano? Temugiraba nga teriimu ka buntu mu maaso gammwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Ani mu mmwe abasigaddewo, eyalaba ku Ssinzizo lino mu kitiibwa kyalyo ekyasooka? Era mukiraba mutya kaakano? Temulaba nga si lyakitiibwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani asigadde mu mmwe eyalaba ennyumba eno mu kitiibwa kyayo ekyasooka? era mugiraba mutya kaakano? temugiraba nga teriimu ka buntu mu maaso gammwe?