Haggai 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nno kati guma, Zerubabbeli, Omukama y'agamba. Guma, Yoswa mutabani wa Yozadaki kabona omukulu. Mugume nammwe abantu ab'omu ggwanga, Omukama w'amagye y'agamba. Mukole, kubanga ndi nammwe, Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno guma omwoyo, ggwe Zerubbaberi, bw’ayogera Mukama; guma omwoyo, ggwe Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; mugume omwoyo mmwe mwenna abantu ab’omu nsi,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mukole, kubanga ndi wamu nammwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye kaakano beera n'amaanyi, ayi Zerubbaberi, bw'ayogera Mukama; era beera n'amaanyi, ayi Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; era mubeere n'amaanyi, mmwe mwenna abantu ab'omu nsi, bw'ayogera Mukama, mukole omulimu, kubanga nze ndi wamu nammwe, bw'ayogera Mukama w'eggye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe Zerubabbeeli, naawe Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki, era nammwe mwenna abantu abali mu nsi eno, temuggwaamu maanyi. Mukole omulimu, kubanga ndi wamu nammwe, nze Mukama Nnannyinimagye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye kaakano beera n'amaanyi, ai Zerubbaberi, bw'ayogera Mukama; era beera n'amaanyi, ai Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; era mubeere n'amaanyi, mmwe mwenna abantu ab'omu nsi, bw'ayogera Mukama, mukole omulimu: kubanga nze ndi wamu nammwe, bw'ayogera Mukama w'eggye,