Haggai 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye nalagaana nammwe lwe mwali mu nsi y'e Misiri; Mwoyo wange ali mu mmwe; muleke kutya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Kino kye nalagaana nammwe bwe mwali muva mu Misiri, ng’Omwoyo wange anaabeeranga nammwe. Temutya.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'ekigambo bwe kiri kye nnalagaana nammwe bwe mwava mu Misiri. Omwoyo gwange gunnabeeranga mu mmwe; temutya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mwali muva e Misiri, nabasuubiza okubeeranga awamu nammwe bulijjo. N'olwekyo muleme kutya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'ekigambo bwe kiri kye nnalagaana nammwe bwe mwava mu Misiri, omwoyo gwange ne gubeera mu mmwe: temutya.