Haggai 2:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kunyeenya amawanga gonna, awo obugagga bw'amawanga gonna bujja kujja, nzija kujjuza Ekiggwa kino n'ekitiibwa, Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikankanya amawanga gonna, n’amawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndikankanya amawanga gonna, n'ebyo eby'egombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kukankanya amawanga gonna, ebyobugagga byago bireetebwe wano, Essinzizo ndijjuze ebyobugagga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ndikankanya amawanga gonna, n'ebyo ebyegombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye: