Haggai 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitiibwa eky'oluvannyuma eky'Ekiggwa kino kirikira wala ekyasooka, Omukama w'Amagye y'agamba. Mu kifo kino nzija kuweerangamu emirembe, Omukama w'Amagye y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Ekitiibwa eky’ennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa ky’eri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitiibwa eky'ennyumba eno, eky'oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka, bw'ayogera Mukama w'eggye; era mu kifo kino mwe ndiweera okukulakulana, bw'ayogera Mukama w'eggye. ’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essinzizo eriggya liriba lya kitiibwa okusinga liri eryasooka, era mu lyo mwe ndiweera abantu bange ebirungi n'emirembe.’ ” Mukama Nnannyinimagye ye ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekitiibwa eky'ennyumba eno eky'oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka, bw'ayogera Mukama w'eggye: era mu kifo kino mwe ndiwa emirembe, bw'ayogera Mukama w'eggye.