Hebrews 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
birikaddiwa ng'olugoye, olibizingako ng'omunagiro, birikyuka ng'ekyambalo, naye ggwe osigala ggwe omu, n'emyaka gyo tegiriiko kkomo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako, era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa. Naye ggwe oba bumu, so n’emyaka gyo tegirikoma.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olibizinga ng'essuuka, Ng'ekyambalo, ne biwaanyisibwa. Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegirikoma.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olibizingako ng'omunagiro, era birikyusibwa ng'ekyambalo. Naye ggwe tokyukako, n'obulamu bwo tebulikoma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olibizinga ng'essuuka, Ng'ekyambalo, ne biwaanyisibwa: Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegiriggwaawo.