Hebrews 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye malayika ani gwe yali agambye nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa abalabe bo lwe ndibafuula akatebe k'ebigere byo”?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti, “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo, ne bafuuka entebe y’ebigere byo”?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ani ku bamalayika, Katonda gwe yali agambye nti: “Tuula ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo, ekirinnyibwako ebigere byo”?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ku malayika ki gwe yali ayogeddeko nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo?