Hebrews 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ddaaki mu nsangi zino ez'oluvannyuma n'ayogera naffe mu Mwana gwe yawa okusikira byonna; mu oyo mwe yatondera ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mu nnaku zino ez'oluvannyuma ayogedde naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era mu ye mwe yatondera ebintu byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu biseera bino eby'oluvannyuma, ayogedde naffe ng'ayita mu Mwana we, gwe yateekawo okuweebwa byonna, era gwe yayitamu okutonda ebintu byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu nnaku zino ez'oluvannyuma yayogerera naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era gwe yatonza ebintu byonna;