Hebrews 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'amaze okusukkulumizibwa n'okusinga bamalayika kyenkana ng'erinnya lye yasikira bwe libasukkiridde ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'asingira ddala obukulu bamalayika bwe yaweebwa erinnya erisingira ddala agaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana yaweebwa ekitiibwa ekisinga ekya bamalayika, nga bwe yaweebwa erinnya erisinga agaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'asinga obulungi bamalayika bw'ati nga bwe yasikira erinnya eribakira bo.