Hebrews 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale malayika ani Katonda gwe yali agambye nti: “Ggwe oli Mwana wange, olwa leero nkuzadde”? Oba era nti: “Ndibeera Kitaawe, naye alibeera mwana wange”?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde?” Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe?” Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy'ali, Naye anaabeeranga mwana gye ndi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga ani ku bamalayika, Katonda gwe yali agambye nti: “Oli Mwana wange, olwaleero nkuzadde”? Oba nti: “Ndiba Kitaawe, naye n'aba Mwana wange”?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ani ku bamalayika gwe yali abuuliddeko nti Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe? era nate nti Nze nnaabeeranga Kitaawe gy'ali, Naye anaabeeranga Mwana gye ndi?