Hebrews 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso ku Mwana, agamba nti: “Nnamulondo yo, ayi Katonda, ya mirembe na mirembe; ddamula w'obwakabaka bwo ddamula wa butuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo ey’Obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe; obutuukirivu, gwe muggo ogw’obwakabaka bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo, ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n'emirembe; N'omuggo ogw'obutuukirivu, gwe muggo ogw'obwakabaka bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bw'ayogera ku Mwana, agamba nti: “Entebe yo ey'obwakabaka, ayi Katonda, ebeerawo emirembe n'emirembe. N'obwakabaka bwo obufugisa bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ku Mwana ayogera nti Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe n'emirembe; N'omuggo ogw'obugolokofu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo.