Hebrews 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wayagala obutuukirivu n'okyawa obugwenyufu. Katonda nno, Katonda wo, kyavudde akusiiga omuzigo, omuzigo ogw'essanyu okusinga ne banywanyi bo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu. Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako amafuta ag’omuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wayagala obutuukirivu, n'okyawa obujeemu; Katonda, Katonda wo, kyavudde akufukako Amafuta ag'okusanyuka okusinga banno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyagala abantu bakole ebituufu, n'okyawa abantu okukola ebikyamu. Katonda, Katonda wo, kyeyava akufukako omuzigo okukuwa ekitiibwa, n'osanyuka okusinga banno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wayagala obutuukirivu, n'okyawa obujeemu; Katonda, Katonda wo, kyavudde akufukako Amafuta ag'okusanyuka okusinga banno.