Hebrews 10:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Etteeka kye lirina bisiikirize busiikirize eby'ebirungi ebirijja, sso si byo ddala; awo nno terisobola n'akatono abo abaweereza kubafuula batuukirivu olw'ebitambiro bye bimu ebiddiŋŋanwa buli mwaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amateeka bwe gali ekisiikirize eky'ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky'ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka, nga teziyinza kutukuza abo abazisemberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amateeka g'Ekiyudaaya, kisiikirize busiikirize eky'ebirungi ebigenda okujja, sso si kifaananyi kyabyo ekituufu. Tegasobola kutukuliza ddala abo abaddiŋŋana ebitambiro bye bimu, buli mwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amateeka bwe galina ekisiikirize eky'ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky'ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka; tebayinza ennaku zonna kutuukiriza abo abazisemberera.