Hebrews 10:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso Kristu yaweereza ekitambiro kimu olw'ebibi ate eky'ennaku zonna, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye oyo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka emu olw'ebibi okutuusa emirembe gyonna, n'alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Kristo yawaayo ekitambiro kimu kyokka ekyamala okuddaabiriza olw'ebibi, n'alyoka atuula emirembe gyonna, ng'aliraanye Katonda, ku ludda olwa ddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye oyo bwe yamala okuwaayo saddaaka emu olw'ebibi okutuusa mirembe gyonna, n'alyoka atuula mu mukono ogwa ddyo ogwa Katonda;